OKUNYWERERA MU NDAGAANO (#6241)

Twegayirire Katonda, ku lw'ekisa Kye, ababeere abo ababuziddwabuziddwa babeere abenkanya era abeesimbu, era n’okubamanyisa ebyo bye babadde balagajjalira.  Ye, mu mazima, Ye Lugaba, Omugabi, Asinga-bonna.  Oleme okugoba abaddu Bo, Ayi Mukama wange, okuva ku mulyango gw'ekisa Kyo, era oleme okubagoba okuva mu mbuga y’okubeerawo Kwo.  Obabeere baggyewo olufu olw'endowooza ezitaliimu, era bayuzeeyuze zi taamusiiya z’ebirowoozo n’esuubi eritaliimu nsa.  Ddaladdala, Ggwe Alina-Byonna, Ali Waggulu-ennyo.  Teri Katonda wabula Ggwe, Ayinza-byonna, Oweekisa.

-Bahá'u'lláh
-----------------------

OKUNYWERERA MU NDAGAANO (#6239)

Onyweze ebigere byaffe, Ayi Mukuma, mu kkubo Lyo, era Ogumye emitima gyaffe mu kukugondera Ggwe.  Okyuse amaaso gaffe eri obubalagavu bw'obumu Bwo, era osanyuse emmeeme zaffe n'obubonero obwa nnamunigina Bwo obutukuvu.  Oyambaze emibiri gyaffe n'ekyambalo ky’ekirabo Kyo, era oggye ku maaso gaffe olutimbe lw’obwonoonefu, era otuwe ekikompe ky'ekisa Kyo; bwetyo ennono y'ebiramu byonna eyimbe ettendo Lyo mu maaso g'okulabika kw’ekitiibwa Kyo.  Kale nno weeyolese Ggwe, Ayi Mukama, n’ekigambo Kyo eky'obusaasizi era n’ekyama ky’okubeerawo Kwo okutukuvu, olwo okusugumbya okutukuvu okw’okusaba kulyoke kujjuze emyoyo gyaffe -- essaala ejja okulinnya waggulu w’ebigambo n'ennukuta n’okusukka okumuumuunya kw’ennyingo z’ebigambo n’amaloboozi gaabyo -- olwo ebintu byonna biryoke bibulire mu butaliiwo mu maaso g'okubikkulirwa kw’ekitiibwa Kyo.
Mukama! Bano be baddu abakuumye era abanywerera mu Ndagaano Yo n’Eddaame Lyo, abeenywerezza ku luwuzi lw’obutasagaasagana mu Nzikiriza Yo, era ne beekwata ku ddinda ly’ekyambalo ky’ekitiibwa Kyo.  Obabeere n’ekisa Kyo, Ayi Mukama, obakakase n’obuyinza Bwo era onyweze ebimyu byabwe mu kukugondera Ggwe.
	Ggwe Asonyiwa, Oweekisa.

-`Abdu'l-Bahá
-----------------------

OKUNYWERERA MU NDAGAANO (#6240)

Ayi Mukama wange era Essuubi lyange!  Oyambe abaagalwa Bo abanywevu mu Ndagaano Yo ey'amaanyi, babeere beesigwa eri Enzikiriza Yo eyoleseddwa, era basse mu nkola amateeka Ggwe ge wabalambikira mu Kitabo Kyo ekirimu Ebyamakula; bwebatyo balyoke bafuuke ebendera z’okuluŋŋamizibwa era ettabaaza y’Eggye ly’omu Ggulu waggulu, ensulo z'amagezi Go agataliiko kkomo, era emmunyeenye ezitulaga ekkubo ettuufu, nga bwe zaakaayakana okuva mu ggulu ettukuvu.
	Ddaladdala, Ggwe Atawangulwa, Ayinza-byonna, Owaamaanyi-gonna.

-`Abdu'l-Bahá
-----------------------

